Menu

Zabbuli 3

BIB

1 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!

2 Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.”

3 Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.

4 Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

5 Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.

6 Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.

7 Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi.

8 Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate