Menu

Zabbuli 47

BIB

1 Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;

2 Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa. Ye Kabaka afuga ensi yonna.

3 Yatujeemululira abantu, n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.

4 Yatulondera omugabo gwaffe, Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

5 Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.

6 Mutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.

7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna, mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

8 Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.

9 Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu; kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi. Katonda agulumizibwenga nnyo.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate