Menu

Zabbuli 52

BIB

1 Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi? Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.

2 Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga kkirita era buli kiseera lwogera bya bulimba.

3 Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, n’okulimba okusinga okwogera amazima.

4 Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira!

5 Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi y’abalamu.

6 Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,

7 “Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

8 Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo emirembe n’emirembe.

9 Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate