Menu

Zabbuli 54

BIB

1 Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda, n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.

2 Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda, owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

3 Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.

4 Laba, Katonda ye mubeezi wange, Mukama ye mukuumi wange.

5 Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize, obazikirize olw’obwesigwa bwo.

6 Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire; ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama, kubanga ddungi.

7 Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna; era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate