Menu

Zabbuli 57

BIB

1 Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

2 Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera.

3 Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

4 Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu. Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale. Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

5 Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

6 Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu.

7 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba.

8 Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.

10 Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate