Menu

Zabbuli 67

BIB

1 Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go.

2 Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.

4 Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.

5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.

6 Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.

7 Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate