Menu

Zabbuli 8

BIB

1 Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna! Ekitiibwa kyo kitenderezebwa okutuuka waggulu mu ggulu.

2 Abaana abato n’abawere wabawa amaanyi okukutendereza; ne basirisa omulabe wo n’oyo ayagala okwesasuza.

3 Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye watonda;

4 omuntu kye ki ggwe okumujjukira, omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

5 Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda; n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.

6 Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye,

7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,

8 n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ebyennyanja eby’omu nnyanja; era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

9 Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Everything we make is available for free because of a generous community of supporters.

Donate